1 Samuel 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababaka bwe bajja, mu kitanda baasangamu kifaananyi ekibajje eky'akalubaale k'awaka n'akaliba k'embuzi ku mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka bwe baayingira, laba, nga terafi ali mu kitanda n'omutto ogw'ebyoya by'embuzi nga guli emitwetwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ababaka bwe baayingira, ne basanga ekifaananyi kya lubaale ow'omu maka, nga kye kiri ku kitanda, nga n'omutto ogw'ebyoya by'embuzi guli mitwetwe waakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka bwe baayingira, laba, terafi ng'ali mu kitanda, ekigugu eky'ebyoya by'embuzi nga kiri emutwetwe.