1 Samuel 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Mikali nti: “Lwaki wannimbyerimbye ababaka bange n'obagamba okudda, n'oleka omulabe wange n'adduka?” Mikali n'ayanukula Sawulo nti: “Kubanga yantiisatiisa nti: ‘Ndeka ŋŋende, lwaki nandikusse?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'abuuza Mikali nti “Onnimbidde ki bw'otyo notolosa omulabe wange n'awona?” Mikali n'addamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Ndeka ŋŋende lwaki nkutta?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'abuuza Mikali nti: “Lwaki onnimbye bw'otyo n'otolosa omulabe wange?” Mikali n'addamu Sawulo nti: “Yaŋŋambye nti bwe simuleka kugenda, ajja kunzita!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba Mikali nti Onnimbidde ki bw'otyo, n'ota omulabe wange agende n'okuwona awonye? Mikali n'addamu Sawulo nti Yaŋŋambye nti Ka ŋŋende; nandikuttidde ki?