1 Samuel 19:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'atuma ababaka bakwate Dawudi. Bwe baalaba ekibinja ky'abalanzi abalanga, Samweli yali ayimiridde awo ng'abakulembeddemu, omwoyo gwa Katonda ne gubajjako, nabo bennyini ne batandika okulanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’atuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera eby’obunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda n’akka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi, ababaka bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera ebya Katonda, nga ne Samwiri ye mukulembeze waabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, nabo ne boogera ebya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi. Ne balaba ekibinja ky'abalanzi nga balanga, nga ne Samweli ali nabo, nga ye mukulembeze waabwe. Awo Mwoyo wa Katonda n'ajja ku babaka ba Sawulo, nabo ne balanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi: awo bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga balagula ne Samwiri ng'ayimiridde nga gwe mutwe gwabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, ne balagula nabo.