1 Samuel 19:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo bwe baakimubuulira, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne balanga. Sawulo n'atuma abalala ogwokusatu, nabo ne balanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo bwe yategeezebwa ekibaddewo, n’atuma ababaka abalala nabo ne baba nga bali. Sawulo n’atuma ekibinja ekyokusatu, era nabo ne baba nga bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baabuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne boogera ebya Katonda. Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogwokusatu, era nabo ne boogera ebya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baabuulira Sawulo, n'atumayo ababaka abalala, era nabo ne balanga. Awo Sawulo n'atuma ababaka omulundi ogwokusatu, era nabo ne balanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamubuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne balagula. Awo Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogw'okusatu, era nabo ne balagula.