1 Samuel 19:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Sawulo yennyini n'agenda mu Rama, n'atuukira ddala ku kidiba ekinene ekiri e Seku, n'abuuza nti: “Samweli ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamubuulira nti: “Bali Nayoti e Rama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyavaamu, ye yennyini kwe kugenda e Laama, n’atuuka awali oluzzi olunene oluli e Seku, n’abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Bali Nayosi mu Laama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo naye n'agenda e Laama, awali oluzzi olunene Seku n'abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne waba eyamutegeeza nti, “Laba bali e Nayosi mu Laama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo naye n'agenda e Raama. Bwe yatuuka ku luzzi olunene oluli e Seku, n'abuuza nti: “Samweli ne Dawudi bali ludda wa?” Ne wabaawo amubuulira nti: “Bali eri e Nayoti mu Raama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo naye n'agenda e Laama, n'ajja awali oluzzi olunene oluli e Seku: n'abuuza n'ayogera nti Bali ludda wa Samwiri ne Dawudi? Ne waba eyayogera nti Laba, bali e Nayosi mu Laama.