1 Samuel 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda e Nayoti, mu Rama. Naye omwoyo gwa Katonda ne gumukwata, n'agenda ng'akumba nga bw'alanga, okutuusa lwe yatuuka mu Nayoti mu Rama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa Mukama n’amukkako, n’atambula ng’ayogera eby’obunnabbi okutuuka e Nayosi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agendayo e Nayosi mu Laama; Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye, n'agenda nga ayogera ebya Katonda okutuuka e Nayosi mu Laama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayolekera Nayoti mu Raama. Mwoyo wa Katonda n'ajja ne ku ye, Sawulo n'agenda ng'alanga okutuusa lwe yatuuka e Nayoti mu Raama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agendayo e Nayosi mu Laama: omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye era, ne yeeyongerayo n'alagula okutuusa lwe yajja e Nayosi mu Laama.