1 Samuel 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ne yeeyambulamu engoye, n'alanga wamu n'abalala mu maaso ga Samweli; n'agwa eri bwereere, n'asigala bw'atyo olunaku olwo lwonna n'ekiro. Kyebaava bagambanga nti: “Ne Sawulo ali mu balanzi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Neyeyambulamu engoye naye n'ayogera ebya Katonda mu maaso ga Samwiri. N'agalamira nga ali bwereere n'azibya obudde era n'abukeesa, olwo abantu kye baava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayambulamu ebyambalo bye n'alangira mu maaso ga Samweli. N'agalamira ng'ali bwereere olunaku olwo lwonna n'ekiro kyonna. Wano we waava enjogera egamba nti: “Ne Sawulo yafuuka mulanzi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ne yeeyambulamu engoye ze, naye n'alagulira mu maaso ga Samwiri n'agalamira nga taliiko ky'ayambadde n'azibya obudde obwo n'akeesa obudde. Kyebava boogera nti Ne Sawulo ali mu bannabbi?