1 Samuel 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nzija kufuluma nyimirire kumpi ne kitange ku ttale w'onobeera; nzija kukwogerako eri kitange; kyonna kye nnaaba nfunye, nzija kukikubuulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, w’onoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, n’oluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nange n'afuluma ne nnyimirira kumpi ne kitange mu nnimiro mwewekwese, ne njogera naye ku bigambo ebyo; era bwennabaako kyemanya kyonna nja kubuulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kugenda nnyimirire kumpi ddala ne kitange mu ttale mw'onooba weekwese, mmubuulire ebikukwatako. Bwe nnaabaako kye mmanya, nja kukikubuulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange naafuluma ne nnyimirira ku mabbali ga kitange mu nnimiro mw'oli, era naateesa ne kitange ebigambo byo; era bwe ndiraba ekigambo kyonna, ndikubuulira.