1 Samuel 19:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'ayogera bulungi ku Dawudi eri kitaawe Sawulo, n'amugamba nti: “Kabaka aleme kukola kibi ku muweereza we Dawudi, kubanga takukolanga kibi, ne by'akoze bikugasizza nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yonasaani n’ayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ng’agamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egy’omugaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n'amugamba nti, “Tokola muddu wo Dawudi kabi konna, kubanga naye takusobyangako ggwe, era ebikolwa bye bibadde birungi nnyo gy'oli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yonataani n'ayogera birungi ku Dawudi ng'ayogera ne Sawulo kitaawe, n'amugamba nti: “Ayi kabaka, tobaako kabi k'okola ku muweereza wo Dawudi, kubanga naye talina kabi ke yali akukoze, era byonna by'akukolera birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n’amugamba nti Kabaka tayonoonanga muddu we Dawudi; kubanga takwonoonanga ggwe, era kubanga ebikolwa bye byabanga birungi nnyo gy'oli;