1 Samuel 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamira omwoyo n'atta Omufilisitiini, Omukama n'awa Yisirayeli yenna obuwanguzi obw'ettendo. Walaba, n'osanyuka. Lwaki okola ekibi ku musaayi ogutaliiko musango ng'otta Dawudi ataliiko musango?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeewaayo n’atta Omufirisuuti; Mukama n’aleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obw’ekitalo, n’okiraba n’osanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yawaayo obulamu bwe, n'atta Omufirisuuti, Mukama n'akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu; wabulaba n'osanyuka, kale lwaki oyagala okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, nga otta Dawudi awatali nsonga?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi yateeka obulamu bwe mu kabi lwe yatta Omufilistiya, Mukama n'atuusa Yisirayeli ku buwanguzi obutalojjeka. Bwe wakiraba, wasanyuka. Kaakano lwaki oyagala okukola akabi ku muntu ataliiko musango, ng'otta Dawudi awatali nsonga?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yateeka obulamu bwe mu mukono gwe n'akuba Omufirisuuti, Mukama n’akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu: wabulaba n'osanyuka: kale kiki ekikwagaza okwonoona omusaayi ogutaliiko musango, okutta Dawudi awatali nsonga?