1 Samuel 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'ayita Dawudi, n'amutegeeza byonna bye baali boogeddeko. Yonatani n'aleeta Dawudi ewa Sawulo, Dawudi n'addamu okuweereza Sawulo nga bwe gwali mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yonasaani n’ayita Dawudi, n’amutegeeza byonna. N’amuleeta eri Sawulo, Dawudi n’addamu n’aweereza Sawulo ng’olubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani n'ayita Dawudi, n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'atwala Dawudi eri Sawulo, n'abeeranga mu maaso ge ng'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yonataani n'ayita Dawudi, n'amubuulira ebigambo ebyo byonna, n'alyoka atwala Dawudi eri Sawulo. Dawudi n'abeeranga ne Sawulo nga bwe yabeeranga edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonasaani n'ayita Dawudi, Yonasaani n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'aleeta Dawudi eri Sawulo, n'abanga mu maaso ge ng'olubereberye.