1 Samuel 19:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate olutalo ne lubaluka buto; Dawudi n'agenda n'alwana n'Abafilisitiini, n'abakuba bubi, ne babadduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newabaawo olutalo olulala, Dawudi n'alwanyisa Abafirisuuti, n'abattamu abantu bangi n'abasigalawo ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabalukawo olutalo olulala, Dawudi n'alumba Abafilistiya n'abalwanyisa n'abattamu abantu bangi, abaasigalawo ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne waba entalo nate: Dawudi n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti, n'abatta olutta olunene; ne badduka mu maaso ge.