1 Samuel 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama omubi ne gugwira Sawulo; yali atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu, ye Dawudi ng'asuna ennanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuzimu omubi ogwa Mukama gwali ku Sawulo, bwe yali ng'atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu lye; ne Dawudi ng'akuba ennanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omwoyo omubi ogwasindikibwa Mukama gwali ku Sawulo. Yali atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu, nga ne Dawudi ali awo akuba ennanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuzimu omubi ogwava eri Mukama gwali ku Sawulo, ng'atudde mu nnyumba ye ng'akute ffumu lye mu ngalo ze; ne Dawudi ng'akuba ennanga n'engalo ze: