1 Samuel 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alimerengula abamuwakanya, aliyima mu ggulu n'ababwatukira nga laddu; Omukama aliramula enkingi z'ensi. Aliwa kabaka we obuyinza; aligulumiza amaanyi g'omusiige we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa; alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu. Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango; aliwa kabaka we amaanyi, era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibabwatukira ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era aliwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza oyo gwe yafukako amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe ba Mukama bamenyebwamenyebwa; ababwatukira ng'asinziira mu ggulu. Mukama alamula ensi yonna. Awa amaanyi, oyo gwe yalonda okuba kabaka. Agulumiza oyo gwe yasiigako omuzigo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibwatuka ku bo ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era alimuwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza ejjembe ly'oyo gwe yafukako amafuta.