1 Samuel 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona baalina empisa gye baayisangamu abantu, ng'oli bwe yabanga aweereza ekitambiro, ng'omuweereza wa kabona ajja akutte entoozo ey'ennimi essatu, awo ng'ennyama etandise okutokota,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, awo omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu (3) mu ngalo ze;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era engeri bakabona abo gye baayisangamu abantu, yali bw'eti: omuntu bwe yawangayo ekitambiro, omuweereza wa kabona ng'ajja nga bakyafumba ennyama, ng'akutte ffooka ey'amannyo asatu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu mu ngalo ze;