1 Samuel 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'agisogga mu kikalango, oba mu bbiga, oba mu nsaka, oba mu ntamu; kyonna entoozo kye yasitulangamu nga kabona akitwala. Bwe baakolanga batyo Abayisirayeli bonna abajjanga e Silo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'akisoya mu nsaka oba mu bbinika oba mu ntamu oba musufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga nga kabona abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli mu Isiraeri eyaagendanga e Siiro okuwaayo ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'afumita mu nsaka oba entamu oba seffuliya. Awo byonna ekyuma ekyo bye kyaleetanga, kabona ng'abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli Muyisirayeli eyajjanga e Siilo okuwaayo ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'akisoya mu nsaka oba bbinika oba ntamu oba sufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga kabona n'abitwalanga n'eryo. Bwe batyo bwe baakoleranga mu Siiro Abaisiraeri bonna abajjangayo.