1 Samuel 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amasavu gaabanga teganaggya ng'omuweereza wa kabona ajja, ng'agamba atambira nti: “Mpa ennyama ngyokere kabona; tajja kukkiriza nnyama yo nfumbe, wabula embisi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe babanga tebannaba kwokya masavu, ng'omuddu wa kabona ajja ng'agamba omusajja oyo awaayo ssaddaaka nti, “Mpa ennyama ey'okwokera kabona kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe baabanga tebannaba kwokya masavu, omuweereza wa kabona ng'ajja n'agamba omusajja awaayo ekitambiro nti: “Mpa ennyama ey'okwokera kabona, kubanga tajja kukkiriza nnyama nfumbe gye munaamuwa, wabula embisi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, nga tebannaba kwokya masavu, omuddu wa kabona n'ajjanga, n'agamba omusajja eyali awaayo ssaddaaka nti Mpa ennyama okwokera kabona; kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.