1 Samuel 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atambira bwe yagambanga nti: “Waakiri olwa leero leka amasavu gamale okwokebwako ku muliro, olyoke otwale kyonna ky'onooba oyagadde,” ye ng'ayanukula nti: “N'akatono! Gampe kaakati, oba si ekyo nzija kutooza maanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Kabasooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti, “Nedda olina okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja bwe yamuddangamu nti: “Ka basooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti: “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusajja bwe yamugambanga nti Tebaaleme kwokya masavu mangu ago, n'olyoka otwala ng'emmeeme yo bw'eyagala; awo n'ayogeranga nti Nedda, naye onoogimpa kaakano: era bw'onoogaana, n'agitwala lwa maanyi.