1 Samuel 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli ye yaweerezanga mu maaso g'Omukama; kaali kalenzi akaayambalanga efodi eya kitaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto, ng'ayambadde ekkanzu eya bafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'atandika ng'akyali mwana muto okuweerezanga mu maaso ga Mukama, ng'ayambadde ekkanzu enjeru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.