1 Samuel 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwaka nnyina yamutungirangayo akakanzu, n'akamuleetera bwe bajjanga ne bba okuweereza ekitambiro ekya buli mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli mwaka nnyina yamutungiranga akakanzu n'akamuleeteranga bwe yabanga agenda ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli mwaka nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamutwalira, bwe yagendanga awamu ne bba, okuwaayo ekitambiro ekya buli mwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamuleeteranga buli mwaka, bwe yalinnyanga awamu ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.