1 Samuel 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eli yawanga omukisa Elukana ne mukazi we, n'abagamba nti: “Omukama akuwe abaana mu mukazi ono, badde mu kifo ky'ono gwe yasaba ate n'amuddiza Omukama.” Olwo ne bagenda ewaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “ Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri n'asabira Erukaana ne mukazi we omukisa ng'ayogera nti, “Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yawa Mukama.” Awo ne baddayo eka ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eli n'asabiranga Elukaana ne mukazi we ng'agamba nti: “Mukama akwongere abaana mu mukazi ono, olw'oyo gwe yatonera Mukama.” Ebyo olwaggwanga ne baddayo ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri n'amusabira omukisa Erukaana ne mukazi we, n'ayogera nti Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yayazika Mukama. Ne baddayo ewaabwe eka.