1 Samuel 2:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali wa kisa eri Anna, n'afunanga embuto, n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Ye omwana Samweli n'akulira mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama nawa Kaana omukisa n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Naye omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'awa Hanna omukisa, n'azaala abaana ab'obulenzi basatu, n'ab'obuwala babiri. Omwana Samweli n'akulira mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'ajjira Kaana n'aba olubuto n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama.