1 Samuel 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kubagamba nti: “Lwaki mukola ebintu ebifaanana bityo, ebikolwa byammwe ebibi bye mpulira mu bantu bonna?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo? Kubanga abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Lwaki mukola ebifaanana bwe bityo? Abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? kubanga abantu bano bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.