1 Samuel 2:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye omwana Samweli n'agenda ng'asuumuka nga bwe yeeyongera okuganja mu maaso g'Omukama n'ag'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi eri Katonda n'eri abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana Samweli ne yeeyongera okukula n'okuganja ewa Katonda ne mu bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi wa Katonda era n'abantu.