1 Samuel 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo omuntu wa Katonda eyajja eri Eli n'amugamba nti: “Bino by'agamba Omukama nti: ‘Ennyumba ya kitaawo bwe yali mu Misiri nga mufugibwa Faraawo, saabeeraga bulungi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja wa Katonda najja eri Eri, n'amugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Neeraga eri ennyumba ya kitaawo bwe baali nga baddu ba Falaawo e Misiri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja wa Katonda n'ajja ewa Eli, n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Nneeyoleka ab'ennyumba ya jjajjaawo bwe baali nga baddu ba kabaka w'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wajja omusajja wa Katonda eri Eri, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Neebikkulira ekika kya kitaawo, bwe baali mu Misiri nga basibiddwa mu nnyumba ya Falaawo?