1 Samuel 2:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawo namulonda mu bika bya Yisirayeli byonna abeere kabona wange, ayambukenga ku mwaliiro gwange, anyookeze obubaani, ayambalenga n'efodi mu maaso gange. Ennyumba ya kitaawo nagiwa byonna ebiva ku bitone ebiwongebwa Abayisirayeli n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'amuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, okuweerezanga ku kyoto kyange, okwoterezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange era n'empa ennyumba ya kitaawo omugabo ku byonna ebiweebwayo ebyokebwa aba Isiraeri bye baleeta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era jjajjaawo oyo namuggya mu b'ebika byonna ebya Yisirayeli, ne mmulonda okuba kabona wange okwambukanga ku alutaari yange, n'okunyookezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange. Era ne mpa ab'ennyumba ya jjajjaawo omugabo ku biweebwayo byonna Abayisirayeli bye bawaayo ebyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era namuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, n'okulinnyanga ku kyoto kyange, okwotezanga obubaane, okwambalanga ekkanzu mu maaso gange? ne mpa ekika kya kitaawo ebiweebwayo byonna eby'abaana ba Isiraeri ebikolebwa n'omuliro?