1 Samuel 2:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki munyooma ekitambiro kyange n'ebitone byange bye nalagira olw'Ekisulo kyange? Lwaki batabani bo b'ossizzaamu ekitiibwa okusinga nze nga mwegezzeza ku bitundu bisinga obulungi ebya buli biweerezebwa abantu bange Yisirayeli?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki temussamu kitiibwa ssaddaaka n'ebiweebwayo gye ndi bye nnalagira mu nnyumba yange, naye n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okusinga nze, naye ne mugejjera ku biweebwayo byange ebisinga obulungi kw'ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki temussaamu kitiibwa ebitambiro byange n'ebiweebwayo gye ndi, bye nalagira mu nnyumba yange, naawe n'ossaamu batabani bo ekitiibwa okusinga nze, ne mugejjera ku bisinga obulungi, mu ebyo byonna abantu bange Abayisirayeli bye bawaayo?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki mmwe okusambira ssaddaaka yange n'ekiweebwayo gye ndi, bye nnalagira mu nnyumba yange, n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okukira nze, mmwe okwesavuwaza n'ebisinga obulungi mu ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?