1 Samuel 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muleke kubeera awo nga mwegulumiza ebitaggwa, n'akamwa kammwe okwogera eby'olunkulu; kubanga Katonda ye Mukama ow'amagezi, ye y'apima obuzito bw'ebikolwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toyogera nate nga weewaanawaana wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala, kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna, era y’apima ebikolwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulekere awo okwenyumiriza; Mukome okwogeza amalala: Kubanga Mukama ye Katonda, ow'okumanya Era alamula byonna abantu bye bakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulekere awo okwenyumiriza, mukomye okwogeza amalala; kubanga Mukama ye Katonda amanyi, era alamula byonna abantu bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.