1 Samuel 2:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Mazima nali nsuubizza nti ennyumba yo n'ennyumba ya kitaawo za kumpeereza mu maaso gange emirembe gyonna.’ Kale nno Omukama agamba nti: ‘Kikafuuwe, si nze! Wabula aliba ampadde ekitiibwa oyo nange ndikimuwa; aliba angayizza, nange ndimugaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava agamba nti, ‘Weewaawo n'ayogera nti ekika kye n'ekika kya kitaawo banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna,’ naye kaakano Mukama agamba nti,‘Ekyo nkiggyewo, abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabengamu ka buntu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa Yisirayeli kyava agamba nti: ‘Weewaawo nasuubiza nti ab'ennyumba yo, n'ab'ennyumba ya jjajjaawo, banampeerezanga ebbanga lyonna. Naye kaakano nze Mukama ŋŋamba nti ekyo kikafuuwe, kubanga abanzisaamu ekitiibwa, be nnassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma, tebassibwengamu kaabuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera nti Okwogera nayogera ng'ekika kyo n'ekika kya kitaawo kinaatambuliranga mu maaso gange ennaku zonna: naye kaakano Mukama ayogera nti Kiddire eri; kubanga abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabayitengamu ka buntu.