1 Samuel 2:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zijja lwe nnaakendeeza ku maanyi go ne ku maanyi g'ennyumba ya kitaawo, mu nnyumba yo ne mubulamu atuuka ku bukadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abantu mu nnyumba ya kitaawo ne wataba akaddiwa mu nnyumba yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abavubuka bonna ab'omu nnyumba yo, ne mu nnyumba ya jjajjaawo, walemenga kubaawo akula n'akaddiwa mu nnyumba yo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja, lwe ndisalako omukono gwo n'omukono gw'ennyumba ya kitaawo, waleme okuba omukadde mu nnyumba yo.