1 Samuel 2:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ku mwaliiro gwange sijja kuggyirawo ddala buli muntu ava mu ggwe, amaaso go ndyoke ngazibye amaziga, nkulabye ennaku, naye bangi ab'ezzadde ly'ennyumba yo bonna banaafanga bavubuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omusajja wo gwe ssiizikirizanga n'asigala nga akyaweereza ku kyoto kyange anaabeeranga wa kukaabya maziga n'akukunakuwaza omwoyo gwo; n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga kye bajje bavubuke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuntu ow'omu nnyumba yo, gwe ndirekawo okuweerezanga ku alutaari yange, alisigalawo kukukaabya maziga agakuziba amaaso, na kunakuwaza mwoyo gwo. N'abaana bonna ab'ennyumba yo, banaafanga nga bavubuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusajja wo gwe ssiizikirizenga okumuggya ku kyoto kyange anaabanga wa kumalawo amaaso go n'okunakuwaza omwoyo gwo: n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga nga kyebajje bavubuke.