1 Samuel 2:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwesitusizaawo kabona omwesigwa, aligendera ku kye nteesa ne ku kye njagala. Ndimuzimbira ennyumba eŋŋumu, era aliweereza mu maaso g'omusiige wange ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga ebyo bye njagala era ebinsanyusa; ndimuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira ennaku zonna era anaaweerezanga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga bye njagala, era ebinsanyusa. Ndimuwa ezzadde ne ndinyweza, liweerezenga ennaku zonna oyo gwe ndisiigako omuzigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndyeyimusiza kabona omwesigwa anaakolanga ng'ebyo bwe biri ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange: era ndimuzimbira ennyumba eyenkalakkalira; era anaatambuliranga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta.