1 Samuel 2:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna aliba akyasigaddewo mu nnyumba yo alijja n'avunnama mu maaso ge olw'akasente n'akatundu k'omugaati ogw'oluwewere ng'awanjaga nti: “Nkwegayiridde, mpaayo ku kalimu k'obwakabona nsobole okufunayo akookulya.” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo aligenda n'amufukaamirira n'amusaba ekitundu eky'effeeza n'omugaati nga ayogera nti, ‘Nkwegayiridde mpa obumu ku buweereza bwa bakabona nfune eky'okulya.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekiseera kirituuka, buli aliba asigaddewo ku b'omu nnyumba yo, n'ajja n'avuunamira kabona oyo okumusabayo ku ssente n'emmere, ng'amugamba nti: ‘Nkwegayiridde, mpa nkole ogumu ku mirimu gya bakabona, nsobole okufuna kye ndya.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira olw'ekitundu ky'effeeza n'omugaati gumu, n'ayogera nti Mpa obumu ku bwami bwa bakabona, nkwegayiridde, ndyoke ndye ku kamere.