1 Samuel 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababadde abakkufu kati bazze ku kusaka, naye abayala tebakyalumwa njala. Omugumba azadde musanvu, naye eyali aweza abaana asigalidde awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala. Eyali omugumba azadde abaana musanvu, n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakkutanga kaakati bapakasizza okufuna emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakkusse: Weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaalyanga ne bakkuta, kaakano bapakasa okufuna emmere, naye abaalumwanga enjala, tekyabaluma. Omukazi omugumba azadde musanvu, n'oyo eyazaala abangi tasigazizza n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakkutanga bapakasizza olw'emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakomye weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera.