1 Samuel 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama y'awa okufa n'awa n'obulamu, atwala emagombe, ate n'aggyayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu; atwala emagombe ate n’azuukiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama atta ate n'alamya: Aserengesa emagombe ate n'abajjayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama aggyawo obulamu n'abuzzaawo; aserengesa emagombe, n'azuukiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama atta n'alamya: Aserengesa mu magombe n'alinnyisa okuvaayo.