1 Samuel 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwavu amusitula n'amuggya mu kkukuuzi, omunkuseere n'amuggya ku lubungo; abatuuza wamu n'abakungu, n'abawa okusikira entebe ey'ekitiibwa. Anti emisingi gy'ensi gya Mukama, ku gyo kwe yabanga enkulungo y'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu; asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu; n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa. Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu ntuumo ye bisasiro; Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abaavu abayimusa n'abaggya mu nfuufu; abali mu bwetaavu, abaggya ku ntuumu y'ebisasiro, n'abatuuza wamu n'abalangira, n'abateeka mu bifo ebyekitiibwa, kubanga empagi z'ensi za Mukama, era ku mpagi ezo, kwe yateeka ensi kwe tuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu lubungo, Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo.