1 Samuel 20:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'adduka e Nayoti ekiri mu Rama, n'ajja eri Yonatani n'amugamba nti: “Kiki kye nakola? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola kitaawo alyoke annoonye okunzita?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’adduka okuva e Nayosi mu Laama n’agenda eri Yonasaani, n’amubuuza nti, “Nkoze ki? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola ekiyagazisa kitaawo okunzita?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama, n'agenda eri Yonasaani n'amugamba nti, “Nkoze ki? Obutali butuukirivu bwange buliwa? Era kibi ki kye nkoze mu maaso ga kitaawo alyoke anoonye okunzita?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayoti mu Raama, n'agenda eri Yonataani, n'amugamba nti: “Nkoze ki? Musango ki gwe nzizizza? Nsobezza ki eri kitaawo alyoke ayagale okunzita?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama n'ajja n'ayogerera mu maaso ga Yonasaani nti Nkoze ki? buluwa obutali butuukirivu bwange? era kiruwa ekibi kyange mu maaso ga kitaawo n'anoonya obulamu bwange?