1 Samuel 20:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayanukula Yonatani nti: “Ani anambuulira nga kitaawo akuzzeemu na bukambwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Ani anantegeeza, kitaawo ng’akuzzeemu n’obusungu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Kitaawo bw'anaaba akuzzeemu n'obukambwe ani anaambuulira?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abuuza Yonataani nti: “Ani anambuulira nga kitaawo akuzzeemu na bboggo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Kitaawo bw'anaaba ng'akuzzeemu n'ebboggo alimbuulira ani?