1 Samuel 20:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Ku lw'Omukama Katonda wa Yisirayeli, nzija kwekkaanya kitange mbeere nga njize ky'asazeewo we bunaatuukira mu budde nga buno enkya. Bwe wanaabaawo ekirungi ku Dawudi nzija kukutumira mangu nkumanyise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “ Mukama, Katonda wa Isirayiri, abeere mujulirwa waffe; nzija kugezaako okumatiza kitange enkya oba okwosa enkya ku ssaawa nga zino. Bw’anaaba nga takuliiko nsonga, kiki ekinandobera okukumanyisa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa. Enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olunaddirira, nja kukemekkereza kitange. Bwe nnalaba ng'akwogerako bulungi ggwe Dawudi, nja kukutumira nkumanyise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli abeere mujulirwa. Enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olunaddirira, nja kukemereza kitange. Bwe nnaalaba ng'akwogerako bulungi ggwe Dawudi, nja kukutumira nkumanyise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa; bwe nnaaba nga mmaze okukemekkereza kitange nga mu kiseera kino enkya oba ku lw'okusatu, laba, bwe waliba obulungi eri Dawudi, kale sirikutumira ne nkikubikkulira?