1 Samuel 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kitange bw'anaaba akyayagala okukukola akabi, Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa sikumanyisa ne nkuyamba ogende mu ddembe. Omukama abeere naawe nga bw'abadde ne kitange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kitange bw’anaaba ng’amaliridde okukukola akabi, kale Mukama ankole bw’atyo, n’okusingawo, bwe siikutegeeze ne nkusindika ogende weekweke. Mukama abeere naawe, nga bw’abadde ne kitange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitange bw'anaaba ayagala okukulako akabi, ne sikikumanyisa, era na sikutolosa ogende mirembe, nze Yonasaani, Mukama ambonereze n'obukambwe. Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitange bw'anaaba ayagala okukukolako akabi, ne sikikumanyisa, era ne sikutolosa ogende mirembe, nze Yonataani, Mukama ambonereze n'obukambwe. Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama akole bw'atyo Yonasaani n'okukirawo, kitange bw'aliba ng'asiimye okukukola obubi, ne sikikubikkulira ne nkusindika ogende mirembe: era Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange.