1 Samuel 20:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba ya kitange tolemanga kugigirira kisa emirembe gyonna, Omukama ne bw'aliba amazeewo abalabe ba Dawudi bonna ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so si kukoma ku kw'ekyo kyokka; naye n'ennaku zonna onoolaganga ekisa ennyumba yange; n'okutuusa Mukama nga amaze okumalawo abalabe ba Dawudi bonna ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye n'ennaku zonna, tolisalako kisa kyo ku ba nnyumba yange, wadde Mukama ng'amaze okusalako abalabe ba Dawudi bonna, okubamalawo ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so si kukoma ku ekyo kyokka, era naye n'ennaku zonna tolisalako kisa kyo ku nnyumba yange weewaawo, okutuusa Mukama lw'alimala okusalako abalabe ba Dawudi buli omu ku nsi yonna.