1 Samuel 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yonatani n'akola endagaano n'ennyumba ya Dawudi ng'agamba nti: “Omukama abalabe ba Dawudi agubasalire gubasinge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “ Mukama abonereze abalabe ba Dawudi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti, “Era Mukama aligivunaana ku balabe ba Dawudi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yonataani n'atta omukago n'ennyumba ya Dawudi nti Mukama aliguvunaana abalabe ba Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti Ne Mukama aligivunaana mu mukono gw'abalabe ba Dawudi.