1 Samuel 20:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yonatani n'addamu okulayiza Dawudi olw'omukwano gwe yamulinako, kubanga yali amwagala nga ye yennyini bwe yeeyagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani n’alayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olw’okwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani n'alayiza Dawudi nate; kubanga yamwagala nga bwe yeeyagala ye yennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani n'addamu okulayiza Dawudi baagalane, kubanga Yonataani yayagala nnyo Dawudi, nga bwe yeeyagala yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonasaani n'alayiza Dawudi nate, o1w'okwagala kwe yamwagala: kubanga yamwagala nga bwe yayagala emmeeme ye ye.