1 Samuel 20:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Enkya y'embaga y'Okuboneka kw'Omwezi; bajja kukwebuuza, ekifo kyo bwe kinaaba ekikalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese, naye tunaakusaalirwa, kijja kutegeerekeka nti toliiwo, kubanga ekifo kyo kinaaba kyereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti, “Enkya omwezi gunaaboneka; era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Enkya lwe lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi, bajja kulaba nga toliiwo, kubanga entebe yo eneeba njereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti Enkya omwezi gunaaboneka: era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere.