1 Samuel 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Kikafuuwe! Tojja kufa; kitange takola kintu kibeere kinene oba kitono kitya nga tamaze kummanyisaako? Lwaki kino yandikinkisizza? Si bwe kiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani n’addamu nti, “Kikafuuwe! Togenda kuttibwa. Laba kitange talina ky’akola, kakibe kinene oba kitono, nga tantegeezezza. Kiki ekyandimuleetedde okukinkisa ekyo? Tekiriiwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani n'amuddamu nti “Kikafuuwe tojja kufa, kubanga kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono nga tasoose kumbulirako. Era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? Si bwe kiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani n'amugamba nti: “Kikafuuwe! Tojja kufa. Kitange talibaako ky'akola ka kibe kinene oba kitono nga tasoose kumbuulirako. Kale kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? Si kituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Kiddire eri; tojja kufa: laba, kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono ky'atambikkulira: era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? si bwe kiri.