1 Samuel 20:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndituma omulenzi ne mmugamba nti: ‘Genda ozuule obusaale.’ Bwe ndigamba omulenzi nti: ‘Obusaale buli ludda eno mu mbiriizi zo, buleete,’ ng'ovaayo; Mazima Omukama nga mulamu, kiriba mulaala, tewaliba kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma nzija kutuma omulenzi nga mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale.’ Bwe naamugamba nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi gy’oli, buleete,’ kale onojja, kubanga Mukama nga bw’ali omulamu, onoolama, era tewaabeewo kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ndituma omwana ne mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale,’ bwe ndigamba omwana nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi eno gye ndi;’ kale n'obulonda n'ojja kubanga olwo nga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe nnaatuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Genda onoonye obusaale,’ ate ne mmugamba nti: ‘Laba, obusaale buli ku ludda luno gy'oli olulwo, buggyeeyo’, olwo n'olyoka ojja. Nga Mukama bw'ali omulamu, onooba bulungi, nga tewali kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ndituma omwana nga njogera nti Genda onoonye obusaale. Bwe ndigamba omwana nti Laba, obusaale buli ku luuyi luno gye ndi: kale n'obutwala n'ojja; kubanga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu.