1 Samuel 20:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omulenzi bwe ndimugamba nti: ‘Obusaale buli eri mu maaso go,’ olwo ogendanga bugenzi, kubanga Omukama aliba akusiibudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Laba, obusaale buli mu maaso,’ kale onoogenda, kubanga olwo Mukama ng’akugambye ogende.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwenagamba omwana nti, ‘Obusaale buli eri mu maaso, ng'odduka kubanga nga Mukama anaaba akulagidde okugenda.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe nnaagamba omuvubuka nti: ‘Laba, obusaale buli eri mu maaso,’ awo ng'ogenda, kubanga Mukama anaaba akulagidde okugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe ndigamba omwana bwe ntyo nti Laba, obusaale buli ku luuyi olw'omumaaso go: kale ne weddukira: kubanga Mukama ng'akusindise.