1 Samuel 20:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne yeekweka ku ttale; embaga y'Okuboneka kw'Omwezi bwe yatuuka, kabaka n'atuula ku mmeeza okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi ne yeekweka mu nnimiro. Embaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese bwe yatuuka, kabaka n’atuula okulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko, omwezi bwe gwaboneka, kabaka n'atuula okulya ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne yeekweka mu ttale. Ku lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi, kabaka n'atuula ku lujjuliro okulya emmere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko: awo omwezi bwe gwaboneka, kabaka ne yeetuulira okulya ku mmere.