1 Samuel 20:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Sawulo tewali kye yayogera; yali alowooza nti: “Oboolyawo waliwo ekimuleetedde obutaba mulongoofu, mazima si mulongoofu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’atabaako kyayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti, “Waliwo ekituuse ku Dawudi ne kimufuula atali mulongoofu; ddala si mulongoofu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo; kubanga yalowooza nti, “Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mu mazima nga si mulongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Sawulo talina kye yayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti Dawudi alina ekimutuuseeko n'atabeera mulongoofu, ddala si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo: kubanga yalowooza nti Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mazima si mulongoofu.