1 Samuel 20:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaŋŋambye nti: ‘Ka ŋŋende, kubanga ab'ennyumba yaffe bajja kuweereza ekitambiro mu kibuga, ne muganda wange yennyini yandagidde mbeeyo; kale nno bw'emba nga nsanze ekisa mu maaso go, ka ŋŋende mangu ndabe ku baganda bange.’ Kwe kulaba nga taliiwo ku kijjulo kya kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’ayogera nti, ‘Nzikiriza ŋŋende kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka ey’okuwaayo mu kibuga, ne muganda wange yandagidde mbeere yo. Kale nno obanga ndabye ekisa mu maaso go, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyeyavudde tabeerawo ku mmeeza ya kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde ndeka ŋŋende; kubanga ab'ennyumba yaffe balina okuwaayo ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo. Kale nno oba nga onkwatiddwa ekisa ndeka ŋŋende ne baganda bange.’ Kyavudde alema okujja ku mmeeza ya kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagambye nti: ‘Nkwegayiridde ndeka ŋŋende, kubanga ab'ennyumba yaffe balina omukolo mu kibuga ogw'okuwaayo ekitambiro, era muganda wange yandagidde okubeerayo. Kale bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyavudde tajja ku mmeeza yo, ayi kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Leka ŋŋende, nkwegayiridde; kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo: kale nno oba nga ŋŋanze mu maaso go, leka ŋŋende, nkwegayiridde, ndabe baganda bange. Kyeyava alema okujja ku mmeeza ya kabaka.